Skip to content Skip to footer

Envunza zituuse e Masaka

jiggers in busoga

Envunza zivudde e Busoga nga kati ziri Masaka.

Envunza zino zirumbye bantu ku kyaalo Kasubi Kimaanya kyabakuza

Abantu okuva mu maka 65 beebamaze okukosebwa ng’abasinga baana na bakadde

Ssentebe w’ekyaalo kino Anselm Ssengendo agambye nti tebalina ngeri gyebayambamu bantu okuleka okubakunga okukuuma obuyonjo.

Omu ku bakoseddwa ye Stephen Kakooza ng’ono asangiddwa ng’envunza zimulidde ebigere , ebitundu by’ekyama n’engalo

Amyuka sipiika wa distulikiti ye Masaka Matiya Kakooza kati abaze ku kawefube w’okuyamba abantu okufuuyira envunza zino n’okusaba abantu okukoma okusula n’ebisolo

Leave a comment

0.0/5