Bya Ben Jumbe.
Akakiiko akakola ku by’okulonda mu district ye Busia kalangiridde Geoffrey Wandera nga ssentebe wa LC 5, oluvanyuma lw’abanne babade avuganya nabo okuduka mu lwokano.
Abavudde mu lw’okano kuliko Tony Ojambo ne Cryspus Bwire nga bano bebabade basigadde mu lw’okano luno ne Wandera.
Kinajukirwa nti bino nga tebinabaawo akakiiko k’ebyokulonda kaasoka kujjamu munna NRMs Borniface Ogutu n’owa DP Deo Njoki nga ensonga zaava ku mpandiika yamanya gaabwe.
Twogedeko n’akulira eby’okulonda mu kitundu kino Umar Kiyimba nagamba nti abaduse mu lwokaano baakikoze kyeyagalire , kale nga mpaawo yakaase.