Bya samuel ssebuliba.
Tutegezeddwa nga amajje ga UPDF ne Police bwebatandise okusika elyato elyasse abantu abasuka mu 30 wano e Mukono, nga kaakano balisembeza ku lubalama lwa Beach eya mutima.
Omwogezi wa police ali mu kitundu kino Zurah Ganyana, agamba nti olunaku olw’okusato olw’omuyiggo lugenda mu maaso, era nga bakwatidde wamu ne police.
Ono agambye nti ebyakazuuka biraga nga bwewaliwo emirambo emirara egiyinza okuzuuka akadde konna.