Skip to content Skip to footer

Oby’okukabasanya abaana mu mambuka byakunonyerezako.

Bya Ben Jumbe.

Ababaka ku kakiiko ekatekebwawo Palamenti okunonyereza ku by’okukabasanya abaana mu masomero wetwogerera nga bagenze mu mambuka ga gwanga okunonyereza ku nsonga yemu.

Tutegeezeddwa nti eno ababaka bagenzeewo okwetegereza engeri abaana gyebayisibwamu naddala ab’obuwala, era nga bagenda kwogera naabo, kko n’abakulira amasomero.

Twogedeko ne ssentebe wakakiiko kano Robinah Rwakojjo naagamba nti baakusokera  Lira n’oluvanyuma bagende mu Adjumani.

Leave a comment

0.0/5