Skip to content Skip to footer

Abantu 113 kubaalina okufuna eza Covid basuulibwa

Bya Prossy Kisakye

Minisitule eyékikula kyábantu, abakozi ne nkulakulana, etegezeza nga abantu 113 kwabo 501,107 abalina okufuna kunsimbi zómuggalo bwetayingiziddwa mu bibalo byabwe.

Entekateeka eyókugabira abanaku ensimbi mu bibuga abakosebwa némbeera eyómuggalo yatongozebwa ssabaminisita Robinah Nabbanja nga buli maka gaalina okufuna emitwalo 10

Entekateeka eyókuyingiza abalina okuganyulwa mu sisitiimu ya gavt yakomekerezeddwa ku lwokutaano lwa ssabiiti ewedde wabula nga abantu 113 tebayingizidwa mu sisitiimu

Omwogezi wa minisitule eno Frank Mugabi, atubuulidde nti lino kyakukosa omuwendo ogwawamu ogwabalina okufuna ensimbi zino.

Era atangaziza ne kunsimbi akawumbi kalamba ne mitwalo 40 ezikyakwamidde mu banka ya Post Banka.

Leave a comment

0.0/5