Skip to content Skip to footer

Museveni akungubaze nalagira okuwandiisa amaato

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni alagidde wabeewo enkola eyekikugu, okuwandiisa amaato gonna ku Nyanja, nga galondoola okuyita ku byuma bi kalimagezi.

Bino bibadde mu bubaka bwomukulembeze we gwanga obwokukungubaga eri egwanga, oluvanyuma lwakabenje koku mazzi akafiriddemu abantu abwerako.

Wabula aweze nti bananyini lyato lino, nababadde baliddukanya bakuvunmanibwa olwokulagajjalira obulamu bwabnatu.

Okusinziira ku Presidenti Museveni abadigize babadde batumbudde, musici, nga kisoboka okuba nti tebawulide biragiro byabagoba abadde babatwala, era najjukiza buli abatambulira ku mazzi okwetegekanga ekimala nokubeera nebiyinza okubtaasa ku bubenje nga buno.

Leave a comment

0.0/5