Skip to content Skip to footer

KCCA eyagala tteeka ku pikipiki

Bya Damalie Mukhaye ne Ndaye Moses

Ekitongole kya Kampala Capital City Authority, kibakanye ne kawefube okubaga etteeka erinaawa abantu babulijjo obuyinza, okukwatanga abagoba ba pikipiki, abavugira ku mabbi ge kkubo, abebigere ate gyebalina okutambulira.

Director atwala ebyopbulamu nobutonde mu kitongole kya KCCA, Dr. Daniel Okello agamba nti basanze nga kizbu okukwasisa amateeka agaliwo awatali buwagizi bwabantu.

Mu kino agamba nti betaaga bayambibweko abantu okutekawo obukakamu nokugoberera amateeka gokunguudo.

Aba pikipiki okuvugira ku mabbali ge kkubo, awatlina okuyita ababigere kizze kyopgerwako ngekitali kya bwenkanya, era ekimenya amateeka.

Ate abakulu mu kitongole kya KCCA, balaze okutya olwekibugumirize ekir mu kibuga.

Bwabadde ayogerako naffe akulira ebyokukuba plan mu kibuga, Bernadette Ssanyu agambye nti mu kunonyererza kwebakola baazuula ngebitundu by paaka enkadde nokwetoolawo, byebisnga okuba nekibugumu.

Kino alabudde nti kyakukosa abantu abakolera mu paaka omwo, nobulamu bwabwe gyebujja.

Kino agamba nti kivudde ku butabaawo mitti ejiyinza, okuyambako okukuba empewo eyobutonde, nomulanga buli akwatibwako kino okukingera eddagala.

Leave a comment

0.0/5