Bya Ritah Kemigisa
Omuwendo gwabantu abafiridde mu nnyanja Nalubaale wali e Mukono gulinnye okutukira ddala ku bantu 30.
Omuyiggo gukyagenda mu maaso ku bantu abatanalwabako oluvanyuma lwakabenje akagudde ku Mutima Beach mu district ye Mukono.
Akabenje kano kaagudde mu gombolola ye Mpatta eryato eribaddeko abadigize, bwerigudde mu mazzi, bwerifunye obuzibu.
Okusinziira ku mumyuka womwogezi wamagye ge gwanga Lt Col. Deo Akiki, wetujidde ku mpewo nga bakanyululula emirambo 30 okuviira ddala akawungeezi akayise.
Ku lyato kuno kubaddeko omulangira David Wasajja, nomuyimbi Irene Namubiru, nga bebamu ku banunuddwa .
Amawulire agasoose gaalaze nti eryato lino libaddeko abantu 120.
Ebisingawo byakujjira mu mawulire gaffe aganaddako.