Skip to content Skip to footer

Gavumenti ekunze ku nnimi enansi

Nakadama

Gavumenti  ezzemu okusaba bannayuganda  bonna okutandika okukozesa, kko n’okwagala enimi enzaliranwa naddala kumutendera ogw’awansi mu masomerero.

Kuno okusaba kukoledwa minister omubeezi ow’ekikula kyabantu Rukia Nakadama, nga eggwanga lyetegekera okwegata kunsi yona okukuza olunaku lwenimi enzaliranwa nga April 8th.

Nakadama agamba nti abaana ba  yiga nyo nga basomesebwa munimi zebategeera, kale nga kino kyetaga okuteekako omulaka

Ono agamba nti mu ntegeka yebyensoma empya abaana okuva ku p1-p-3 balina kuyiga mu nimi zebategeera

Leave a comment

0.0/5