Skip to content Skip to footer

Entambula y’enyonyi yandikyankalana olwa Obama

Okukyala kw’omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barack Obama wano ku muliraanwo mu Kenya kukyagyamu abantu ab’enjawulo omwasi.

Omu ku bannabyabufuzi abakukutivu  Yonna Kanyomozi  agamba Obama agidde mu kiseera  ekirungi nga ekitundu kya East Africa kifumbekeddemu obutujju, obutabanguko wamu n’abavubuka bangi abakaaba emirimu.

Wabula Kanyonozi alabula banansi mu ggwanga lya East Africa okutaba nyo nasuubi mu Obama yadde nga kitaawe munnakenya.

Kyo ekitongole ky’ebyembuuka  by’enyonyi wano mu Uganda kitegezezza  nti wandibaawo okutatagana kw’embuuka z’enyonyi oluvanyuma lw’emirimu okuyimirizibwa ku kisaawe ky’enyonyi ky’e Kenya ekya Jomo Kenyatta Airport pulezidenti Obama w’agenda okutuukira.

Omwogezi w’ekitongole kino  Vianney Luggya agamba yadde nga guli gutyo betegefu okukwasaganya embeera yonna ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe.

Kati twogeddeko ne bannayuganda nebatuteteegza kyebasuubira mu kukyala kwa Obama.

Leave a comment

0.0/5