Okunonya akalulu ku ani anakwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kwa 2016 kukyagenda mu maaso.
Oluvanyuma lw’okuyugumya ebitundu bye Busoga ne Bugishu, eyali ssenkaggale w’ekibiina kino Dr Kiiza Besigye kati ayolekedde Masaka.
Mungeri yeemu ssenkaggale w’ekibiina Maj Gen Mugisha Muntu olwaleero ayolekedde bitundu bya West Nile.
Muntu agamba buli kimu kitambula bulungi okugyako poliisi bweyagezezzaako okumulemesa okugenda mu ddwaliro lye Kabale.