W’owulirira bino nga ttabamiruka w’ekibiina kya Democratic Party atandise wali e Katomi Kingdom Resort ng’emikolo gyonna gikulembeddwamu ssenkaggale w’ekibiina kino Norbert Mao.
Wabula abamu ku beesimbyewo balaze obutali bumativu olw’abanaabwe bebesimbyeko okuba nga bebali mu mitambo gy’emikolo gyonna nga n’abamu babalumiriza okutuula ku kakiiko k’ebyokulonda k’ekibiina.
Abakungu b’ekibiina kino okuva mu disitulikiti 110 kwezo 112 ezisuubirwa batuuse dda.
Wabula ye ssabawandiisi w’ekibiina kino Matthias Nsubuga agamba buli kimu kitambula bulungi.
Agamba bakusooka kuteesa ku nongosereza mu mateeka g’ekibiina n’oluvanyuma balonde abakulembeze baabwe.
Abamu ku babaka abeetabye mu lukiiko luno kuliko Florence Namayanja, Deo Kiyingi, Fred Mbidde, Brenda Nabukenya, Joseph Balikuddembe, Suzan Namaganda n’abalala
Ate nga ab’ekiwayi kya Mao bali mu ttabamiruka, ab’ekiwayi ekikulemberwa loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago bolekedde disituliki ye Luweero okukuba enkungaana gaggadde.
Abawagizi baabwe abasoba mu 100 basimbudde okuva ku ofiisi y’omubaka wa Kawempe North Latif Ssebaggala nga bakulembeddwamu loodi meeya Erias Lukwago n’omubaka Ssebuliba Mutumba.
Lukwago ne banne bayimiriddeko mu kibuga ky’e Bombo wakati mu namunji w’abawagizi ababanirizza.
Ye omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi akakasizza nga bano bwebategezezza poliisi ku nteekateeka zaabwe ez’okukuba olukungaana era nebabakiriza.