Abavubuka b’ekibiina kya NRM bazzemu okulaga obuwagizi bwabwe eri pulezidenti Museveni okwesimbawo mu 2016 awatali amuguganya okuva mu kibiina.
Nga ayogerako eri bannamawulire amakya galeero, ssentebe w’abavubuka mu kibiina Dennis Namara ategezezza nga bwebasaanye okusasula omukulembeze w’eggwanga olw’enkulakulana gy’aleese mu ggwanga nga kyakwongera n’obumu munda mu kibiina.
Nga ayogera ku ky’enkyukakyuka mu baminisita okwabaddewo ku wiikendi, Namara asabye abo bonna abaagondomoddwako agafo okulwanyisa ebizibu ebitawanya abavubuka.