Abatuuze ku byaalo ebisoba mu 4 mu gombolola ye Buwunga mu disitulikiti ye Masaka bali mu kutya oluvanyuma lw’engo eyabalumbye.
Ebyaalo ebisinze okukosebwa kuliko Bujja, Bukyulo, Kibindi, Kayijja n’ebirala nga era abatuuze bagamba engo eno ebamalidde ebisolo nga batya bweva ku bisolo yakudda ku bbo.
Anna Maria Yagga omutuuze we Kayijja agamba engo eno y’atuze embizzi ze 2 mu kiro ekyakeesa olwomukaaga.
Kansala w’ekitundu kino Julius Ssekiwunga wano w’asabidde abatwala ekitongole ky’ebyebisolo byomunsiko mu ggwanga okubataasa ku bisolo byomunsiko ebitandise okubazingako.