Abasatu ku bagambibwa okutega bbomu ezatta abasoba mu 70 mu mwaka gwa 2010 olwaleero bewozezzaako nebegaana byonna ebibasibwaako.
Muzafar Luyima yegaanye okukweka aabakkiriza okutega bbomu zino okuli Idris Nsubuga ne Hassan Haruna Luyima.
Muzafar Luyima agamba nti tekolagana ngako na bantu bano ababiri yadde okubayambako mu ngeri yonna.
Yye Mohamad Hamidu Suleman munnansi wa Kenya agambye nti yye akulira kibiina ekirwanirira eddembe ly’abayisiraamu era nga yali ayamba bangi okugenda e Mecca kyokka nga takikolangako kukola butujju.
Yye Abubakar Batemyetto amaziga gamuyiseemu ng’ayogera byonna by’ayiseemu ku lw’omusango gw’agamba nti tazzangako.
Omusajja ono agambye nti yali ali mu ggwanga lya South Sudan bbomu zino wezayabikira era nga mu bulamu bwe takwatanga ku mundu yadde okutta omuntu kyokka nga kyamuggwaako okumuyunga ku kabinja ka Alshabab.
Abavunaanibwa mukaaga beebakamala okwewozaako nga ku bano 3 bannayuganda ate abalala bannansi ba Kenya.
Omusango guno gwakuddamu ku bbalaza.