Omukugu mu nsonga z’ebyobufuzi oagamba nti okunonyereza okwakoleddwa nga kulaga nti pulezidenti Museveni akyaleebya banne kusaana kwetegereza
Kiddiridde abavuganya okuwakanya ebizuuliddwa nga bagamba nti tebikwatagana na byebakungaanyizza.
Kati prof Mukwaya agamba nti ensonga z’abavuganya zirimu eggumba era zisaana kwetegerezebwa.
Mukwaya agamba nti engeri eby’obufuzi nga gyebitambula, kyeyoleka nti kizibu okufuna ebituufu mu kadde kano kubanga abantu batya okwatuula bebawagira
Bbo aba NRM bagamba nti ebyazuuliddwa bikakasa byebabadde basuubira mu kalulu k’omwaka ogujja.
Amyuka omwogezi wa NRM Ofwono Opondo agamba nti ebyazuuliddwa birungi gyebali nga kati bakwongera kunyweeza buwagizi bwaabwe mu bibuga
Opondo NRM lug
Okunonyereza okwakoleddwa kwalaze nti ssinga bannayuganda balonda kati, pulezidenti Museveni yandiwangudde n’obululu obuweza ebitundu 60 ku kikumi nekuddako Besigye n’ebtundu 21 ku kikumi olwo Mbabazi n’adako n’obululu ebitundu 6 ku kikumi.