Abatuuze abaakosebwa enteekateeka y’okugaziya oluguudo oluva e Bulima okudda e Kabwoya mu disitulikiti y’e Hoima baweze okulemesa enteekateeka z’okutandika omulimu gw’okukola oluguudo luno okujjako nga bamaze okuliyirirwa.
Oluguudo luno olugenda okuddabirizibwa luyunga Hoima ku Kigumba ne Kyenjonjo mu Tooro.
Omu ku batuuze abali mu kitundu ekyo Abdul Kajura agambye nti wadde ng’omukulembeze w’eggwanga yalagira nti omulimu gutandike, tebagenda kukkirirza mayumba gaabwe na nnimiro kwonoonebwa nga tebafunye nsimbi za kuliyirirwa.
Kampuni ya China Railways Engineering Group of Company yeeyaweebwa tenda okukola oluguudo luno, nga lulina okuba nga luwedde mu bbanga lya myaka ebiri gyokka, okuva mu mwezi ogwaggwa ogw’ekkumi omwaka guno.