Skip to content Skip to footer

Supreme Mufti alayiziddwa

Supreme mufti wa Uganda omuggya Sheikh sulaiman Kasule Ndirangwa alayiziddwa okutandika emirimu gye.

Ndirangwa yalondebwa olukiiko lwa ba maseeka okudda mu kifo ky’omugenzi Sheikh Zubair Kayongo eyafa mu w’okuna gw’omwaka guno.

Emikolo gino gyetabiddwaako abanene mu gavumenti ya wakati , eya Buganda, abakuuma ddembe n’abantu ba bulijjo era nga gibadde ku kasozi ke Kibuli.

Ng’ayogerako eri abakkiriza, Supreme Mufti Sheikh Ndirangwa agambye nti ekimuweereddwa buvunaanyizibwa sso ssi bitiibwa era nga wakufuba okulaba nti atuukiriza n’asuubiza nti wakutambulira ku mazima.

Ate yye omwogezi wa Kibuli, Sheikh Nuhu Muzaata Batte agambye nti ensonga y’abayisiraamu abattibwa nkulu ekyaali mu ddiiro kyokka nga kyenyamiza nti teri gyogeraako

Muzaata alumbye abeesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga olw’obutabaako nakyebanyega ku nsonga eno.

Leave a comment

0.0/5