Skip to content Skip to footer

Ekelezia ekubiriza bannauganda okwetanira e mirembe

Bya Prossy Kisakye,

Ekelezia katolika mu ggwanga esabye abakwatibwako ensonga zebyokulonda bonna okwetanira e mirembe mu kulonda okujja

Bwabadde awa obubaka bwa mazaalibwa ga mukama waffe yesu kristu kugwandisizo lya bakatoliki e Nsambya, Ssentebe wólukiiko lwa basumba era nga ye Musumba wéssaza lya Kiyinda Mityana, Rt Rev Anthoy Zziwa,alaze obwenyamivvu ku bannauganda abafiirirwa obulamu mu kwekalakaasa okwaliwo mu ggwanga omwezi oguwedde nga abawagizi ba Robert kyagulanyi eyegwanyiza Entebbe eyomukulembeze bawakanya okukwatibwa kwe mu disitulikiti eye Luuka gyeyali agenze okunonya akalulu

Omusumba Zziwa agambye nti bulijjo mu biseera ebya kampeyini nákalulu wabaawo okukyamukirira kungi wabula abantu tebasanye kwemalamu ka buntu

Mungeri yemu asabye abakuuma ddembe okweyambisa amazaalibwa gÓmulokozi okuwa bannauganda ekirabo ekyémirembe awatali kukuba tiyagaasi námasasi nókuyiwa omusaayi eri abavuganya gavt nábawagizi baabwe

Leave a comment

0.0/5