Bya Benjamin Jumbe
Ebitongole byobwanakyewa, ebirwanirirra eddembe lyobuntu bisabye amagye ge gwanga gayimbule mbagirawo bayimbule munnamateeka Nicholas Opiyo okudda mu mikono gya poliisi.
Omulanga guno bagukubidde wali ku kitebbe kya SIU e Kireka, gyebagenze okumanya ebikwata ku Opiyo ne bannamateeka abalala 2 bwebakwatiddwa.
Mu kiwandiiko ekyawamu kyebanjudde, Job Kiija agambye nti okutuntuza bnakyewa, kirina engeri gyekigenda okukosaamu ebye ddembe lyobuntu mu Uganda.
Olunnaku lwe ggulo, poliisi yakasizza okukwatibwa kwa Opiyo ku misango gyobufere n’okwoza mu ssente ku biragiro byekitongole kya Financial Intellegence Authority.