Skip to content Skip to footer

Sam Kuteesa ayanukudde America

File Photo: Kutesa nga yogeera

Bya Ritah Kemigisa

Minister owensonga ze bweru we gwanga Sam Kutesa ayanukudde omubaka mu lukiiko lwa America olwa congress Elliot Engel, era ssentebbe wakakiiko akensonga ze bweru we gwanga eyasaba nti abanenene mu bitongole byebyokwerinda mu Uganda abatekebweko envumbo olwokwetaba mu kulinyirirra eddembe lyobuntu, okweyongedde.

Kati mu bbaluwa gyeyawandiise nga 21 Decemba, Kuteesa agambye nti Uganda ebaddemu emirembe nekulakulana eyomugundu, nga kino kibaddewo olwengeri gyebasaamu ekitiibwa mu ddembe lyobuntu nokulwanyisa obutujju.

Agambye nti buvunayzibwa bwbatauuze bennyini, okwesalirawo engeri egwanga gyebagala litambulemu.

Ku nsonga yokukwatanga abamu ku bavuganya gavumenti, Kuteesa agambye nti abesimbyewo ku bukulembeze bwe gwanga batambulira mu mateeka gegamu awatali kwawulayawulamu.

Okunyigiriza eddembe lyabanamawulire, agambye nti buli omu wa ddembe okweyagalira mu ddembe lye okujjako abo abalikozesa obubi.

Leave a comment

0.0/5