Bya Ndaye Moses
Uganda Joint Christian Council, ekibiina ekigatta banadiini abakulisitaayo basabye gavumenti eyongezeeyo okulonda okubindabinda, omwezi ogujja.
Bano nga bakulembeddwamu ssabasumba we ssaza ekkulu erye Kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga bagambye nti kyetaaga okulonda kuyimirire oluvanyuma kuberwo mu myaka 3, nge besigambye kungeri ekirwadde kya COVID-19 gyekyewanise amatanga.
Bagala ssemateka akolebwemu ennongosereza, okwongera omukulembeze we gwanga ekisanja.
Dr Lwanga yenyamidde nagamba nti mu nkungaana zebyobufuzi, bangi babadde tebgoberera mateeka ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe eranga kisubirwa nti bangi balwadde, atenga bagendakwongera okulwala.
Mu mbeera endala bogedde ku bukambwe bwabebyokwerinda, ekivuddeko abantu bangi okufa ngembeera eriwo teraga mirembe okujjako ddukadduka.
Ssabasumba Kizito Lwanga abadde ne Fr Daniel Musiitwa omumyuka wa ssabawandiisi ne Twikirize Lois akulira ebyemirimu.