Minisita omubeezi ow’ebyobulamu avunanyiaibwa ku bujanjabi obusookerwako Dr. Joyce Kaduchu mwenyamivu olwabatiini abongera okufuna embuto mu ggwanga entakera.
Okusinziira ku kunonyereza okwakolebwa aba Uganda Demographic and Health Survey mu 2011, abawala abatanetuuka abafuna embuto bali ku bitundu 24% nga kubano 45% tebaasooma nga era bagenda okutuusa emyaka 18 nga bamaama abawedde emirimu.
Kati bweyabadde asisisnkanyemu abazaalisa , minisita Kaduchu y’abasoomozezza okwegatta ku lutalo lw’okusomesa abawala akabi akali mu kufuna embuto nga tebanetuuka.
Agamba abawala okwongera okutikibwa embuto kikosa kawefube w’abakyala okwekulakulanya.