Bya Abubaker Kirunda
Poliisi e Jinja etandise okunonyereza ku butemu obukoleddwa ku musirikale waayo, abaana boku nguudo bwebamukakanyeko nebamutematema nebamutta.
Omugenzi ye George Tanga ngabadde akuuma ku poliisi mu paaka ya taxi e Jinja, wbula kigambibw anti aliko abaan beyakutte nemitayimbwa egigambibwa okubeera emibbe.
Eno bweyabatutte mu kaddukulu, omu ku baana yabadde ne jambiya namwqefuliira nebamutematema nebamutta.
Kati omubaka wa gavumenti e Jinja Eric Sakwa akaksizza bino, wbaula ekinenyezza ku poliii nti yali yabagamba dda bajje abaana ku nguudo kubangabafuuse ekizibu.