Bya Sadat Mbogo
Ensasagge egudde ku kyalo Maya mu town council y’e Kyengera mu district y’e Wakiso, maama ow’abaana 5 bweyesse.
Okusinziira ku bba womugenzi ategeerekeseeko erya Mutebi, mukyala we Allen Nakaggwa nga kigambibwa nti yeesaze mu bulago n’ejjirita okukkakana ngafudde.
Kati poliisi y’e Nsangi emukutte ayambeko mukunonyereza, wabula yye agambye nti omugenzi abadde atera okugwamu akazoole.
Omulambo gutwaliddwa mu gwanika ly’eddwaliro ekkulu e Gombe okwongera okugwekebejja nga n’okunonyereza kugenda mu maaso.