Bya Benjamin Jumbe,
Omulwanirizi wéddembe Nicholas Opiyo kyadaaki akkiriziddwa okulaba bannamateekabe naba famile ye
Opiyo ne banne abalala 3 bagombedwamu obwala abakuuma ddembe olunaku lweggulo ku restaurant e Kamwokya ne batwalibwa e Kireka ku Special Investigation Unit era nebamibwa omukisa okulaba bannamateeka, abasawo naboluganda lwabwe
Mu kwogerako ne bannamawulire munnamateeka wa Opio David Mpanga agambye nti bamaze ne babaleka okumulaba
Ono agamba nti kati bafuba kumanya musango gumukwasiza, nókulaba nti ayimbulwa ku kakalu ka poliisi oba okumutwala mu kkooti
Poliisi olunaku lweggulo yategeezeza nga bweyakutte Opio ku bigambibwa nti aliko ensimbi zabadde atambuza mungeri emenya amateeka