Bya Samuel Ssebuliba.
Bannabyabufuzi n’abalwanirizi b’eddembe lyobuntu bagumbye ku police okuli eye Katwe ne Kawempe nga bagala okuyimbulwa kwabanaabwe okuli Julius Katongole ne Moses Bigirwa abakwatiidwa kubyekussa okukola ku kuma omuliro mu bantu.
Bigirwa owa Uganda Young Democrats yaggalirwa sabiti ewedde oluvayuma lw’okwogerako ku radio emu e Bwaise , gyagambibwa okuba nti gyeyasinziira okukuma omuliro mu bantu.
Kati banabyabufuzi nga bakulembedwamu mayor wa division ye Kawempe Emmanuel Serunjoji bagumbye ku police e kwempe mukusaba ateebwe.
Twogedeko n’ayogerera police Mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire atubulidde nti Bigirwa wakutwalibwa mu mbugga z’amateeka esaawa yonna nadala nga ekitongole ekiramuzi kikomyewo okuva mu mugandalo.