
Namwandu w’eyali omugagga mu kibuga Eria Ssebunya Kasiwukira azzeemu okusaba nti yeeyimirirwe.
Ono ategeezezza nti obulamu bwe buzze bunafuwa nga takyasobola mbeera ya kkomera
Sarah Nabikolo Ssebunya okuva mu 2014 ng’ali ku alimanda e Luzira avunaanibwa kutta bba Eria Sebunnya
Ku biwandiiko by’atadde mu kkooti ng’asaba yeeyimirirwe, omukyala ono ataddeko alipoota y’omusawo we Edward Ddumba amaze ebbanga lya myaka 10 ng’amujjanjaba obulwadde bwa puleesa, sukaali ne siriimu.
Dr. Dumba yawa Nabikola amagezi okulya mu ngeri ey’enjawulo ky’atasobola kutuukiriza ng’ali mu kkomera
Nabikolo era ataddeko n’ebbaluwa y’omusawo we Luzira akakasa nti Nabikolo azze agweereera yadde ng’ali ku ddagala eriweweeza ku mukenenya
Omusawo we Luzira agambye nti Nabikola bamukebera nga n’ensigo ze kkko n’ekibumba bizze binafuwa
Kati kkooti eragidde abe Luzira okuzza Nabikolo mu kkooti nga 8 omwezi ogujja ensonga ze zitunulweemu.