Bya Samuel Ssebuliba
Police etegeezeza ng’okweyongera kw’emisango egy’okusobya ku baana bwekuvudde bulagajavu bwabazedde mukaseera kano abatakyafaayo kubaana baabwe abobuwala .
Bino webigidde nga omuze gwokusobya ku baana naddala abatenetuuka gyeyongedde, okusinga nga gikolebwa abenganda babaan benyini.
Twogedeko ne Rose Nalubega akola ku kunonyereza ku misango egyokusobya ku baana ku kitebe kyabambega e Kibuli nagamba nti egisinga ku misango gyebafuna gyekusa ku bazadde abalekawo abaana baabwe okukakana nga basobezedwako bakitaabwe nababalabirira abalala.
Ono mungeri yeemu agambye nti n’omuzze ogw’okuzibira abazizza emisango gw’eyongedde, nga kino kigotaanya kaweefube owokunonyereza ku misango gino.