Bya Abubker Kirunda
E Kamuli ku kyalo Buwanume waliwo omusajja akubiddwa emigo nafa nga bamulanze kubba nkoko.
Omusajja ono atanamanyika manya ge asangiddwa ngatiddwa nga’teredwako enkoko wagulu ngakabonero akagala nti abadde mubbi.
Ayogerera police Michael Kasadha agambye nti omulambo gwono gusangidwako ebiwundu ebyamaanyi, wabula tewali muntu yenna nga yakwatiddwa.
