Skip to content Skip to footer

Ssiriimu Akyali Waggulu mu Bakyala

Bya Damalie Mukhaye

Alipoota efulumizidwa Ministry yeby’obulamu eraze nti obulwadde bwa mukenenya bukyali wagulu mu bakyala bw’ogerageranya n’abasajja.

Okunoonyereza kuno kwakolebwa mu mwaka gwa 2016 nga kulaze nti mukenenya mu bakyal atuuse ku bitundu 7.5%, atenga mu basajja akyali ku bitundu 4.3%.

Bwabadde ayogerako ne banamawulire minister webyobulamu Jane Ruth Aceng agambye nti mu Uganda yonna kati mukenenya yakakwata abantu akakadde 1 nemitwalo 30

Alipoota eraze nti abantu abakulu abali wakati wemyaka 15 ne 49 abakola 6% balina mukenenya, songa abaana wakati w’emyaka 5 ne 14 abakola obuntundu-tundu 0.5% balina omwera nju.

Mungeri yeemu kizuuse nga mukenenya mu kibuga atuuse ku bitundu 7.1%, ate mu byalo abalina mukenenya bakola ebitundu 5.5%.

Minister agambye nti abantu batandise okujumbira okukozesa amakubo agabayamba okwewala mukenenya, songa nokukomola mu basajja okwekisawo kuyambye nnyo okukakanya ku mbeera.

Ate ebitundu byo’bugwanjuba namaserengeta ge gwanga alipoota ya ministry eyebulamu eyomwaka oguwedde ku bulwadde bwa mukenenya eraza nti Ebitundu byaserengeta Nobugwanjuba byebisingamu akawuka ka siriimu.

Ebitundu okuli district nga Kampala, Luwero, Masaka, Mukono nebiralale byetoloddewo siriimu ali ku bitundu 7.6%.

Minista owebyobulamu Jane Ruth Acwenge ategezezza nti West Nile siriimu ali ku bitundu 2.8% ate mu Busoga ku bitundu 3.4%.

Kino ministry ekitadde ku bikolwa ebyokwegadanga, ebiri waggulu mu bantu mu bitundu ebyogeddwako.

Leave a comment

0.0/5