
Abayizi be Makerere abasoba mu 10,000 beebagenda okutikkirwa okuviira ddala nga 19 okutuuka nga 22nd January
Omwogezi w’ettendekero lino Rita Namisango agambye nti abayizi bokka abaggya okutikkirwa byebasasudde ez’okutikkirwam abaakola ebigezo ne bayita ate nga bamaalayo ne fiizi.
Namisango asabye abazadde n’abayizi okusigala nga bakkakkamu nga bwebamaliriza ebikwata ku bagenda okutikkirwa
Asabye abagaala okwekalakaasa okusooka balinde ng’amannya agasembayo gafulumiziddwa.