Skip to content Skip to footer

Palamenti eragidde Brian White akwatibwe, avunanibwe

Bya Ivan Ssenabulya,

Akakiiko ka palamenti akakola ku ddembe lyobuntu kalagidde omukyakaze Brian Kirumira aka Brian White, agulweko emisango egyokukukusa abantu ekikontana n’etteeka erya erikugira okukukusa abantu.

Mungeri yemu akakiiko kalagidde poliisi ekwate Brian White, agulweko emisango egyokukabasanya abaana abobuwala abakolanga mu kitongole kye ekya Brian White foundation.

Akakiiko kano oluvanyuma lwokunonyereza ku misango gye banjulidde palamenti alipoota akawungeezi ka leero mu bivudde mu kunonyereza.

Ssentebe wa kakiiko kano Jovah Kamateeka alaze esuubi nti okusinzira ku mateeka agaliwo abaakosebwa bonna bakufuna obwenkanya.

Wabula ye omubaka Henry Kibalya agamba nti takakasa oba poliisi enetukiriza ekiragiro kino.

Ono agamba nti abawala abangi abakabasanyizibwa Brian White ne badukira mu bobuyinza ne batafuna kuyambibwa.

Leave a comment

0.0/5