Bya Ritah Kemigisa
Akulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi amanyiddwa ng Bobi Wine, ayambalidde omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni.
Musevenyi yayise ku twitter, nategeeza nga bweyasisinkanye abawagizi ba NUP mu maka gobwa pulezidenti Entebbe, nebawyaamu ku nsonga ezenjawulo.
Yagambye nti musanyufu olwebirowoozo byebalina, naddala ku nsonga ezikyalemye gavumenti ya NRM.
Yagambye nti wakukolagana nabo, wadde bali ku ludda oluvuganya okutereeza egwanga.
Wabula Kyagulanyi, naye ayise ku twitter okwanukula nategeeza nti beyasisinkanye ssi bawagizi ba NUP, nga bwayogera yamanyi gyeyabajje.
Wano agambye nti kikolwa kyabuswavu, omukulembeze we’gwanga okwogera ebigambo ebyo oluvanyuma lwabagizi ba NUP abazze batibwa nag nabamu bakyali mu makomera.
Azeemu nabanja nti abantu be bonna abali mu makomera bayimbulwe.