
Ababaka ba palamenti okuva mu Kampala bavuddeyo nebemulugunya ku ngeri ebipande byaabwe gyebitimbululwaamu.
Kino kizze nga KCCA ky’ejje yewerere abesimbyeewo ku kumala gatimba bipande nga tabasasudde.
Ababaka okubadde Latiff Ssebagala, Moses Kasibante ne John Ssimbwa bagamba nti bakozesa ensimbi mpitirivu okutimba ebipande kyokka nebakeera nga byonna bitimbuludde
KCCA eyagala buli kipande ekitimbibwa kisasulwe shs 500 ababaka zebagamba nti za bbeeyi.
Ababaka bano bagamba nti kino kyoleese okukosa kampeyini zaabwe era nebasaba sipiika wa palamenti okuyingira mu nsonga zino.