Skip to content Skip to footer

Poliisi etubidde n’omulambo gw’omukazi

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi e Kabale etubidde nomulambo gomukazi ogwasangiddwa nga gutenjejjera ku mugga Kiruruma.

Omulambo guno gwasangiddwa ku kyalo Kamirongo mu gombolola ye Maziba mu district ye Kabale, nga gwamukazi wabulanga teguliiko bimwogerako.

Owmogezi wa poliisi mu kitundu Eli Matte agambye nti omugenzi alabika atemera mu myaka 30, nga yabadde ayambadde ekitende ekya kitaka ne brouse eya blue.

Poliisi era egamba nti omulambo guno guliko obugere 6.

Kati omulambo guno gutwaliddwa mu gwanika lye ddwaliro ekkulu e Kabale okwongera okugwekebejja.

Leave a comment

0.0/5