Skip to content Skip to footer

Omusango gw’omusamize Ssebuyungo gutandise

Bya Ivan Ssenabulya

Okuwuliriza omusango gwabantu 6 abaakwatibwa ku misango gy’obutemu kutandise mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono Margret Mutonyi.

Abavunanwa kuliko Ssebuyungo Wilber ng’olumu yeyita Sonko Owen, Wamala Mohammed eyeyita Vincent Bob, Lutwama James, Semwanga Kizza Fred, Kibuuka Joseph Jr. ne Walakira Isa, nga bawerenneba na misango gya butemu n’okukukusa abantu okubasaddaaka. bano bonna batuuze mu distrct ye Kayunga

Omulamuzi Mutonyi agaanye okusaba kwabavunanwa okwokweyimirirwa nggambye nti omusango guno gutekeddwa okuwulirwa mu bwangu.

Wabula akkirizza okusaba kw’abawaabi ba gavumenti abakulemerwamu Kalya Christine Byamugisha okugenda mu kifo awaddizibwa omusango guno bongere okufuna ekifaananyi ekituufu ku byaliwo.

Leave a comment

0.0/5