Bya Ivan Ssenabulya
Ebiwoobe bibutikidde abasirikale ba poliisi e Mukono, bwebafunye amawulire gokufa kwakulira ekitongole kya Flying Squard e Mukono Asp Rwego Muhozi nomumyukla we Emmanel Abbey.
Bano bafiridde mu kabenje ngabantu abalala bebabadde nabo Sam Asiimwe, Alex Nantamu, Ssebbale Julius nomulala ategerekeseeko erya George babuuse nebisago.
Bano ababdde mu mmotoka kika kya Ipsum No UAT219/Q ebadde egoba ababbi bamafuta okuva e Kisoga okudda e Katosi oluvanyuma nelemerera omugoba waayo neva ku luguudo negwa.
Omuddumizi wa poliisi e Mukono Rogers Sseguya akakaksizza akabenje kano.
Emirambo jitwaliddwa mu gwanika mu ddwaliro ekkulu e Mulago ngokunonyereza poliisi egamba nti kugenda mu maaso.