KAMPALA
Bya Damalie Mukhaye
Minister omubeezi akola ku nsonga za Kampala omukyala Ben Namugwanya ategeezeza nga bwagenda okufuna abaseriikale bayambeko okulanga bakalabalaba babakwasisa amateeka aba KCCA.
Bano okuvaayo kidiridde abakwasisa amateeka ba KCCA okugoba omukyala omutembeeyi , okukakana ng’agudde mumwala gwe Nakivubo naafa.
Kati bwabadde ayogerako ne banamawulire, minister Namugwanya agambye nti kebakitegedeko nti police erina obukugu bwonna, basazeewo bagikozesa okulungamya bano abakwasisa amateeka bakome okusiiwuka empisa
Wabula ono ategezeza nti mu kaseera kano bakyalinda alipoota okuva ku police enyonmyola enfa yomukyala ono, noluvanyuma babeeko kyebakola