Bya Ruth Anderah
Eyali akulira ebyensimbi mu kitongole kyebyenguudo ekya UNRA Joel Semugooma nomubalirizi webitabo Wilberforce Senjaako basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzir, bebakeyo emyaka 5 olwokukozesa obubi wofiisi ye.
Ate omusubuzi Apollo Senkeeto yyemu kkomera wakwebayo emyaka 10 olwokwefuula kyatali nabba obwumbi 24 nobukadde 700 ezaali ezokukola oluguudo lwa Kyetume-Mukono-Katosi-Nyenga.
Bwabadde abawa ebibonerezo, omulamuzi wa kooti ewozesa abalyake Lawrence Gidudu agabye nti ono wabula tekisoboka okuzza ssente zino, kubanga tewaliiwo alipoota ya mubalirizi wabitabo bya gavumenti eyaletebwa mu kooti okukakasa ddala omuwendo gwensimbi ono zeyazza ku mumwa.
Olunnaku lwe ggulo bano basingisddwa emisangogyokukozesa obubi wofiisi ate nokwefuula kyebatali okubulankanya ensimbi zino, zebagamba nti zaweebwa kampuni ya EUTAW wabula etalina busobozi kukola mulimu guno.
Bano kigambiobwa nti baalai mu kkobaane nokujingirirra ebiwandiiko okubba ssente zino.
Mu musango guno era, omulamuzi yegyerezza eyali minister webyenguudo Eng. Abraham Byandala.