Skip to content Skip to footer

Pulezident alabuddwa ku bakungu abalyake.

Bya samuel ssebulba.

Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni awabuddwa okudamu yeekenenye abaduumizi b’amajje , n’ebitongole ebikuuma dembe, kubanga  bino byandiba nga birimu abantu abaliisa abantu akakanja nga ekigendererwa kukyayisa government.

Bino bigidde mukadde nga abalwanirizi b’edembe ly’obuntu batadde government kuninga kunkola ey’amajje okukuba nga abantu emiggo , n’okuyisa ababaka ba paraliament nga eby’okutale.

Okusinziira ku minister atalina mulimo gwankalakalira Hajji Abdul Nadduli, kirabika nga waliwo akakundi k’abaserikale , n’abakungu ba government abeefula abakola enyo, wabula nga amakulu kutatana government eri abantu , gyebinagwera nga egudde.

Kati ono agamba nti president agwana akakane yetegereze basajabe baatuma emirimo, bandiba nga bagenderera kusajjula mbeera.

Leave a comment

0.0/5