Bya Samuel Ssebuliba.
Omukulembeze we gwanga lya South Sudane Salva Kiir akirizza okuteeka omukono ku ndagaano ey’emirembe ne Riek Machar .
Bano babaade bamaze esabiiti eziwera nga bekuteerera mu kibuga Khartoum , nga amakulu mukyo kumalawo okulwanagana okwatandika mu mwaka 2013.
Bino bigidde mukadde nga abakulu bano baakateeka emikono ku ndagaano eziwerako omuli ez’okukomya okulwanagana, era Machar naddamu okufuuka amyuka president.
Omukwanaganya wenteseganya zino Al-Dierdiry Ahmed agamba nti endagano eno ewedde, wabula nga ebulako kusaako mukono nga abakulembeze b’amawanga ga east Africa bonna batudde.