Bya samuel ssebuliba.
Government ya Uganda eriko ebaluwa gy’ewandiikidde ginaayo eya Kenya nga eyagala egitegeeza lwaki abantu baabulijjo, kko n’ababaka ba parliament baayomba nga ulumuse ku kya police okukwata Bobi wine nebatuuka nokulengeza omukulembeze we gwanga lya Uganda.
Minister wa Uganda akola ku nsonga za East Africa minister Julius Maganda, agamba nti Uganda ewandiise ebaluwa nga bayita mu parliament yaawano , nga beetaga Kenya yeetonde
Kinajukirwa nti sabiiti ewedde ababaka baanyiga neboogera ebikakana, songa nekunguudo zebibuga ebyanjawulo, simu Kenya mwokka abantu bekalakasa olwa bobi wine.
Kati ono ayagala government eno yetonde kubanga kubanga kuno kwali kuyingirira bwetwaze bwa Uganda.