Skip to content Skip to footer

Abantu bekalakaasa olw’agavumenti okukwata omubaka Kyagulanyi

Bya Kato Joseph ne Sam Ssebuliba

Wano mu Kampala embeera esiibye yab unkenke nga kino kidiridde abantu okulaga obutali bumativu olwa police okugaana  omubaka wa kyadondo east Robert Kyagulanyi okugenda e bweru ajanjabibwe.

Musasi waffe Kato joseph ali mu kibuga atubuulide nti mpaawo kwekalakaasa kwamaanyi wabula nga abantu bajagaladde, ekivirideko abaamaduuka okugaggala, era nga ne police yeetala mubuli kasinda .

Bino nga bigenda mu maaso banamateeka babaka bano okuli Robert Kyagulanyi ne Francis Zaake  bategeezeza nga bwebagenda mu kooti enkulu nga baagala ekole ekiwandiiko ekiriza bano okutwalibwa e bweru bajanjabibwe.

Twogedeko ne munamateeka waabano Asuman Basalirwa,naagamba nti baagala kooti ekikakase nti kyabadde kimenya mateeka okugaana ababaka bano okugenda e bweru e gulo,kubanga tewali teeka libagaana

Mungeri yeemu n’abalwanirizi b’edembe lyobntu wansi w’ekibiina ekya Human right network balumbye government olw’okugaana  ababaka ba parliament bano okugenda e bunayira okujanjabwa nebasalwo  okubaggalira e kiruddu.

Twogedeko naakulira ekibiina kino Muhammad Ndifuna,nagamba nti ekifo bano gyebabatutte tekisobola kuyamba bantu nga bano abali mubulumi obutagambika, kale nga kyetagisa okubakiriza okugenda e bunayira nga bwebaagala.

Ono agamba nti ababaka aboogerwako tebalina musango, nadala kyagulanyi kooti yamuka kukakalu, kale nga okubeezingako tekikola makulu.

Getwakasembayo okufuna galaga nga bano bwebeggalide mu busenge mwebali, era nga bagaanye abasawo okubakwatako.

Leave a comment

0.0/5