Skip to content Skip to footer

Poliiisi yeetaga zakulonda

Police deploys

Ng’ebula emyezi kkumi eggwanga libe n’okulonda okw’awamu, poliisi yeetaga obuwumbi 204 .

Zino zakukola ku bya kwerinda mu biseera by’okulonda

Ng’alabiseeko mu kakiiko akakola ku by’okwerinda, minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen. Aronda Nyakairima agambye nti balina bingi eby’okukola ebitannaba kukwatibwaako kale nga betaaga okutandika okutambula.

Nyakairima agamba nti waliwo emiwaatwa mu by’ensimbi ekiyinza okukosa eby’okwerinda

Aronda agamba nti era beetaga obuwumbi obulala 22 ez’emisaala gy’abasirikale 35000 beebalina okuwandiisa.

Beetaga era n’obuwumbi 48 ez’okulwanyisa obuzzi bw’emisango.

Gavumenti esabiddwa okukola ku ky’okukendeeza emyaka eri abo abesimbawo ku bwa ssentebe wa distulikiti

Okusaba kuno kukoleddwa ab’ekibiina ekikola okunyonyereza n’ebyembalirira ekya African Centre for policy research and accountability ku bikwatagana n’akalulu na biki ebikulu ebirina okutunuulirwa

Atwala ekitongole ekiddukanya emirimu mu kibiina kino James Okwi agamba nti abantu bonna abawezezza emyaka 18 bandibadde baweebwa akakisa okwesimbawo okusobozesa abavubuka okwenyigira mu byobufuzi ku mitendera gya wansi

Bano era bagaala n’ensimbi ezisabibwa abesimbyeewo zijjibweewo

Bamalirizza nga basaba nti amakubo gassibweewo okuyamba abavubuka okwongera okwenyigira mu byobufuzi ku mitendera gyonna

Leave a comment

0.0/5