Okukyala kwa papa Francis wano mu ggwanga kuli mu lusuubo yadde nga bannayuganda bangi bakwesunga.
Okusinziira ku lukiiko olutwala abasumba mu Uganda papa alina emirmu mingi egimulindiridde okuva mu gw’omukaaga okutuuka mu gw’ekkumi nga era wakutegeka olukungaana lw’abasumba mu nsi yonna mu Vatican.
Ssabawandiisi w’olukiiko luno Msgr John Kauta agamba okuva ku by’okutebereza, n’omubaka wa papa wano mu ggwanga tannafuna bubaka bwonna ku kukyala kwa papa omwaka guno.
Paapa yategeeza nga nga bwajja okukyalako mu Uganda ku nkomerero y’omwaka guno.
Bbo ab’omusumba bwe Lira beebagenda okukulemberamu emikolo gy’abajulizi e Namugongo omwaka guno
Emikolo gino egikwatibwa buli nga 3rd June gyakutambulira ku mulamwa gw’okubeera abajulizi ba kirisitu mu maka n’eri abantu.
Omusumba w’obusumba bwe Lira Joseph Franzelli agambye nti bagaala okutumbula obumu naddala mu biseera by’okulonda okw’omwaka ogujja
Franzelli agamba nti enteekateeka ziwedde era obukadde 300 zeezetaagisa okukola ku bikujjuko byonna.
