Skip to content Skip to footer

Gavumenti egamba nti omubaka Zaake abadde atoloka

Bya Sam Ssebuliba

Omwogezi wa gavumenti, agamba nti beekengedde omubaka wa munispaali ye Mityana Francis Zaake, nti abadde atoloka.

Omubaka ono akwatiddwa abakuumam ddembe, ku kisaawe Entebbe byabadde agenda okutwalibwa mu gwanga lya India okujanjabibwa.

Zaake bamutwalidde mu Ambulance okuva ku ddwaliro e Rubaga gyabadde ajanjabirwa.

Wabula okusinziira ku mwogezi wa gavumenti Ofono Opondo, mu kiwandiiko kyafulumizza Zaake alabika abadde atoloka, songa yetagibwa.

Omubaka Zaake nga yoomu ku babaka abaakubwa abakuuma ddembe, mu kanyolagano akagoberera okulonda kwomubaka wa munisipaali ye Arua, kubadde kumusokolayo, nga tekinakaksibwa wa ate gyebamututte.

Gyabubudeko ekitongole ky’abambega ba police kyawandiikira eddwaliro lye Lubaga, nga basaba baweebwe Zaake bamutwale e Mulago, kyoka Lubaga negaana.

Leave a comment

0.0/5