
Ab’ekibiina kya DP okuva e Mukono bateekateeka kugenda mu maka g’eyakwatidde ekibiina kya FDC bendera e Kasangati poliisi gyekyamuggalidde.
Bano bakukulemberwa amyuka ssentebe wa DP era omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze.
Nambooze azze akunga abantu okukunganya emmere n’ebikozesebwa ebirala babitwalire Dr. Kiiza Besigye.
Nambooze agamba bakutambula olugendo lwonna okutuuka e Kasangati.