Skip to content Skip to footer

Omulwadde w’ensimbu agudde mu kidiba nafiramu

Bya Abubaker Kirunda

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Buwaga mu gombolola ye Bulange mu disitulikiti ye Namutumba, omulenzi owemyaka 20 bwasirittuse nagwa mu kidiba nafa.

Omugenzi ye Emmanuel Kyangwa, ngabadde mutuuze ku kyalo Buwaga mu gombolola eno.

Ssentebbe we’kyalo Samuel Waiswa agambye nti ono abadde agenze kuvuba, wabula alinnye mu ttosi angwamu mu kidiba.

Oluvanyuma omulambo gwe gubulukuseeyo, bagusanze gutenjejjera ku kidiba kino ekye Nabilala era nebagujjayo.

Omwana ono kigambibwa nti abadde alina ekiradde kyensimbu.

Leave a comment

0.0/5