Bya Abubaker Kirunda
Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako Rosemary Sseninde alagidde abakulira abakozi mu disitulikiti zonna okugoba abakulu b’amassomero abanalemesa okuwandiisa abayizi okugenda okutandika nga May 29.
Bw’abadde ayogerera mu lukungaana lw’ebyenjigiriza e Jinja, Minisita ategezezza nga abakulu abamu bayinza okwebulankanya nebatagyayo mpapula zakuwandiisa bayizi kale abakulira abakozi tebalonzalonza babagoberewo.
Sseninde agamba abakulu abamu babadde bateeka abayizi b’empewo ku lukalala lwabo abalina okuganyulwa mu nkola ya bonna basome ekifirizza gavumenti ensimbi ezitagambika kumpi obuwumbi 20 buli mwaka.
Agamba okwewala okufiirizibwa kuno bakwataganye n’abekitongole ekiwandiisa abantu okufuna endaga Muntu okuwandiisa abayiai bonna era baweebwe enamba.
